Ezekiel 47:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Amazzi gano gakulukuta nga galaga mu nsi y'ebuvanjuba ne gakkirira mu Araba, eyo gye gayiira mu nnyanja; bwe gayiwa mu nnyanja, amazzi gaayo ne galongooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Amazzi gano gakulukuta gadda mu kitundu eky’ensi eky’Ebuvanjuba, ne gaserengeta mu ddungu, ne gayingira mu Nnyanja. Omugga bwe guyiwa mu Nnyanja amazzi ne galongooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “Amazzi gano gakulukuta okugenda mu nsi ez'ebuvanjuba, ne gaserengeta mu Alaba, ne gayingira mu nnyanja. Omugga bwe guyiwa mu nnyanja amazzi ne galongooka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'aŋŋamba nti: “Amazzi gano gakulukuta nga gadda ebuvanjuba, ne gaserengeta mu Kiwonvu kya Yorudaani, ne geeyiwa mu Nnyanja Enfu. Bwe gatuuka mu nnyanja eyo, galongoosa amazzi gaamu ne gaba malungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Amazzi gano gasibuka okugenda mu njuyi ez'ebuvanjuba, era galiserengeta mu Alaba: era galigenda eri ennyanja; mu nnyanja amazzi gye galidda agaasibusibwa; era amazzi galiwonyezebwa: