Ezekiel 47:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonna omugga gye gugenda ebiramu byonna ebibunyemu biriba biramu. Ebyennyanja biriba bingi nnyo, kubanga amazzi gano bwe gakulukutirayo, amazzi ag'omunnyo galongooka; awo nno omugga gye gukulukutira buli kintu kiriba kiramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kiramu tekirifa yonna omugga gye guyita, era mulibeeramu ebyennyanja bingi nnyo, kubanga amazzi gano agakulukutirayo gafuula amazzi ag’omu Nnyanja ey’Omunnyo okuba amalungi, noolwekyo omugga gye guyita, ebintu byonna binaabeeranga biramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka buli kintu kiramu tekirifa yonna omugga gye guyita, era mulibeeramu ebyennyanja bingi nnyo, kubanga amazzi gano agakulukutirayo gafuula amazzi ag'omu nnyanja ey'omunnyo okuba amalungi, n'olwekyo omugga gye guyita ebintu byonna binaabeeranga biramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amazzi ago buli kifo mwe galikulukutira, buli kiramu ekigabeeramu, kiriba kiramu, era mulibaamu ebyennyanja bingi nnyo. Olw'amazzi ago agagenzeeyo, amazzi g'Ennyanja eyo Enfu galirongooka. Omugga guno buli gye gunaatuukanga, buli kintu kinaabanga kiramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka buli kintu ekiramu kye gajjula mu buli kifo emigga gye girituuka kiriba kiramu; era walibaawo olufulube lw'ebyennyanja lungi nnyo: kubanga amazzi gano gatuuse eyo, n'amazzi ag'omu nnyanja galiwonyezebwa, na buli kintu kiriba kiramu buli omugga gye gunaatuukanga.