Ezekiel 48:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gano ge mannya g'ebika: “Ku nsalo emambuka ku kkubo ly'e Ketuloni okutuuka e Lebo-Kamati ne Kazari-Enani ku nsalo za Damasiko emambuka okuliraana Kamati, okuva ku nkingi ey'ebuvanjuba okutuuka ku y'ebugwanjuba, kye kitundu kimu, ye Daani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Gano ge mannya g’ebika: “Ku nsalo ey’Obukiikakkono, okuva ku nnyanja n’okuyita mu kkubo Agekusulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi n’okutuuka Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ku luuyi olw’Obukiikakkono okuliraana Kamasi, okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Ddaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era gano ge mannya g'ebika: okuva ku nsalo ey'obukiikakkono, ku mabbali g'ekkubo Agekesulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi, Kazalemaani awali ensalo y'e Ddamasiko, ku luuyi olw'obukiikakkono ku mabbali ag'e Kamasi; era baliba n'embiriizi zaabwe nga zitunuulira ebuvanjuba n'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Ddani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gano ge mannya g'Ebika: Daani aligabana ekitundu eky'ensikirano, ekitandikira ku nsalo ey'omu bukiikakkono ku mabbali g'ekkubo ly'e Hetulooni, okutuuka awayingirirwa mu Hamati, n'okweyongerayo e Hazari Enoni, ku nsalo ne Damasiko mu bukiikakkono, ku mabbali ga Hamati okuva ku nsalo ey'ebuvanjuba, okutuuka ku y'ebugwanjuba. Ekika kya Daani ekyo, kirifuna omugabo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era gano ge mannya g'ebika okuva ku nkomerero ey'obukiika obwa kkono, ku mabbali g'ekkubo Agekesulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi, Kazalemaani awali ensalo y'e Ddamasiko, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono ku mabbali ag'e Kamasi; era baliba n'embiriizi zaabwe nga zitunuulira ebuvanjuba n'ebugwanjuba; Ddaani omugabo gumu.