Ezekiel 48:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye kiriba ekitundu ekitukuvu, ekya bakabona: ku luuyi olw'emambuka kiriba kya mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu, ate ku luuyi olw'ebugwanjuba kiriba kya mikono omutwalo gumu obugazi; ku luuyi olw'ebuvanjuba emikono omutwalo gumu obugazi; ate ku luuyi olw'emaserengeta, emikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu; mu kyo wakati we waliba Ekitukuvu ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugabo ogwo ogwawuddwako guliba gwa bakabona era guliba mayilo munaana obuwanvu ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba n’obuwanvu mayilo munaana ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu wa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekitone ekitukuvu kiriba kya bakabona; eri obukiikakkono obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'eri obugwanjuba obugazi omutwalo gumu (10,000), n'eri obuvanjuba obugazi omutwalo gumu (10,000), n'eri obukiikaddyo obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'awatukuvu wa Mukama waliba wakati mu kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona balifuna ekitundu ku ttaka lino eriweereddwayo eri Mukama. Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, ekitundu kyabwe kiriba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu, n'okuva ebukiikakkono okutuuka ebukiikaddyo, kilomita ttaano. Ekifo kya Mukama Ekitukuvu kiribeera wakati mu kyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekitone ekitukuvu kiriba ky'abo, kya bakabona; eri obukiika obwa kkono obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano, n'eri obugwanjuba obugazi kakumi, n'eri obuvanjuba obugazi kakumi, n'eri obukiika obwa ddyo obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano: n'awatukuvu wa Mukama waliba wakati mu kyo.