Ezekiel 48:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiriba kya bakabona abasiige, bazzukulu ba Zadoki abampeereza n'obwesigwa, abatanjabulira ng'Abaleevi bwe bannesuuba luli Abayisirayeli lwe banjawukanako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekifo ekyo kiriba kya bakabona abaatukuzibwa bazzukulu ba Zadooki, abaamperezanga n’obwesigwa ne batawaba ng’abaana ba Isirayiri bwe baakola, era ng’Abaleevi abalala bwe banvaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiriba kya bakabona abaatukuzibwa ab'oku batabani ba Zadoki, abaakuumanga ebyo bye nnalagira; abatawabanga abaana ba Isiraeri bwe baawaba, nga Abaleevi bwe baawaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu kino kiriba kya bakabona abaatukuzibwa, era ab'omu lulyo lw'ezzadde lya Zaddooki. Abo be baakuuma bye nalagira, abataawabira wamu na Bayisirayeli balala kukola bibi nga Baleevi bannaabwe bwe baawaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiriba kya bakabona abatukuzibwa ab'oku batabani ba Zadoki, abaakuumanga ebyo bye nnalagira; abataawaba nga abaana ba Isiraeri bwe baawaba, nga Abaleevi bwe baawaba.