Ezekiel 48:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiriba kitundu kyabwe ekivudde ku kitundu ekisinga obutukuvu eky'ensi nga kisalagana n'ekitundu ky'Abaleevi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kiriba kirabo kyabwe eky’enjawulo ekiggiddwa ku mugabo ogwawuddwa ku nsi, ekifo ekitukuvu ennyo okuliraana ekitundu ky’Abaleevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kiriba gyebali ekitone ekiggibwa ku kitone eky'ensi, ekintu ekitukuvu ennyo, awali ensalo ey'Abaleevi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu kye balifuna, kiriggyibwa ku kitundu ky'ensi ekyayawulibwa, era kiriba ekitundu ekitukuvu ennyo. Kiriba kiriraanye n'eky'Abaleevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kiriba gye bali ekitone ekiggibwa ku kitone eky'ensi, ekintu ekitukuvu ennyo, awali ensalo ey'Abaleevi.