Ezekiel 48:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“N'Abaleevi baliweebwa ekitundu ekisalagana n'obutaka bwa bakabona, nga kya mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu, ate obugazi omutwalo gumu. Obuwanvu bwonna awamu buliba emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi emikono omutwalo gumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Okuliraana ekitundu ekya bakabona, Abaleevi balifuna omugabo, obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu. Obuwanvu bwonna buliba mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'Abaleevi baliba n'ekitundu ekyenkana n'ensalo ya bakabona, obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) n'obugazi omutwalo gumu (10,000), obuwanvu bwonna buliba emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) n'obugazi omutwalo gumu (10,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi nabo baliba n'ekitundu ekyabwe, nga kiriraanye n'ekya bakabona. Nakyo kiriba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, okuva ebuvanjuba okudda ebugwanjuba, ne kilomita ttaano obugazi, okuva ebukiikakkono okudda ebukiikaddyo. Ekitundu kyonna awamu, ekya bakabona n'eky'Abaleevi, kiriba kilomita kkumi na bbiri obuwanvu, ne kilomita kkumi obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'Abaleevi baliba n'ekitundu ekyenkana n'ensalo ya bakabona, obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi kakumi: obuwanvu bwonna buliba obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi kakumi: