Ezekiel 48:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebakitundangako yadde okukiwaanyisamu; lino lye ttaka erisinga obulungi era si lya kuweebwa mulala, kubanga ttukuvu eri Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebateekwa kukitunda newaakubadde okukiwaanyisa; wadde okuggyamu ebibala ebisooka eby’omu nsi kubanga kitukuvu eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tebakitundanga so tebakiwaanyisanga, so n'ebibala ebibereberye eby'ensi tebifuukanga bya balala, kubanga kitukuvu eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ekyo, kye kitundu ekisinga obulungi mu nsi eyo yonna, era tebaakitundenga, wadde okukiwaanyisaamu ekirala, oba okukifuula eky'omulala, kubanga kyayawulirwa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebakitundanga so tebakiwaanyisanga, so n'ebibala ebibereberye eby'ensi tebifuukanga bya balala: kubanga kitukuvu eri Mukama.