Ezekiel 48:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekitundu ekisigadde eky'emikono enkumi ttaano obugazi n'emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu, kiriba kya kweyambisibwa kibuga mu ngeri eya bulijjo, ne ku lw'okusengamu n'olw'amalundiro. Ekibuga kiribeera mu kyo wakati;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekitundu ekirifikkawo ekiweza obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo emu kiriba kifo kya bulijjo eky’ekibuga, okuzimbamu ennyumba. Ekibuga kiriba wakati wakyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'enkumi ettaano (5,000) ezifisseewo mu bugazi mu maaso g'emitwalo ebiri mu enkumi ettaano (25,000) ziriba za bantu bonna okulya, za kibuga, za kubeerwamu era za mbuga, era ekibuga kiriba wakati omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ekisigaddewo ekya kilomita ekkumi n'ebbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita bbiri n'ekitundu obugazi, kiriba kya kukozesebwanga bantu bonna. Kiriba kya kuzimbamu kibuga, na kukolamu malundiro. Ekibuga kiribeera wakati mu kyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'enkumi ettaano ezifisseewo mu bugazi mu maaso g'obukumi bubiri mu enkumi ttaano ziriba za bantu bonna okulya, za kibuga, za kubeerwamu era za mbuga: era ekibuga kiriba wakati omwo.