Ezekiel 48:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era bino bye bipimo byakyo: ku luuyi olw'emambuka, emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano; ku luuyi olw'ebuvanjuba, emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano; ku luuyi olw'emaserengeta, emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano, ne ku luuyi olw'ebugwanjuba emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ebipimo byakyo biriba ku luuyi olw’Obukiikakkono mayilo emu n’ekitundu ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mayilo emu n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kuno kwe kuliba okugerebwa kwawo; olubiriizi olw'obukiikakkono enkumi nnya mu bitaano (4,500), n'olubiriizi olw'obukiikaddyo enkumi nnya mu bitaano (4,500), ne ku lubiriizi olw'obuvanjuba enkumi nnya mu bitaano (4,500), n'olubiriizi olw'obugwanjuba enkumi nnya mu bitaano (4,500).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era kiryenkanankana enjuyi zonna, mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano buli ludda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kuno kwe kuliba okugerebwa kwawo; olubiriizi olw'obukiika obwa kkono enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'olubiriizi olw'obukiika obwa ddyo enkumi nnya mu ebikumi bitaano, ne ku lubiriizi olw'obuvanjuba, enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'olubiriizi olw'obugwanjuba enkumi nnya mu ebikumi bitaano.