Ezekiel 48:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amalundiro g'ekibuga ga kubeera n'emikono, emambuka ebikumi bibiri mu ataano, emaserengeta ebikumi bibiri mu ataano, ebuvanjuba ebikumi bibiri mu ataano, n'ebugwanjuba ebikumi bibiri mu ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekifo ekiri ebbali w’ekibuga kiriba n’ebipimo byakyo; ku luuyi olw’Obukiikakkono mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekibuga kiribaako embuga; eri obukiikakkono bibiri mu ataano (250), n'eri obukiikaddyo bibiri mu ataano (250), n'eri obuvanjuba bibiri mu ataano (250), n'eri obugwanjuba bibiri mu ataano (250).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga ekyo, kiryetooloolwa ekibangirizi kya mita kikumi mu abiri mu ttaano enjuyi zonna, ebukiikakkono n'ebukiikaddyo, ebuvanjuba n'ebugwanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekibuga kiribaako embuga; eri obukiika obwa kkono ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obukiika obwa ddyo ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obuvanjuba ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obugwanjuba ebikumi bibiri mu ataano.