Ezekiel 48:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okusalagana n'ekitundu kya Daani, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba, kye kitundu kimu, ye Aseeri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okuliraana Ddaani okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Aseri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awali ensalo ya Ddaani, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Aseri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aseri aligabana ekitundu ekiriraanye ensalo ne Daani, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, era alifuna omugabo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awali ensalo ya Ddaani, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Aseri omugabo gumu.