Ezekiel 48:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitundu kyonna kye mwawulangako kya kubeera n'enjuyi ezenkanankana: emikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano ku buli luuyi. Kye ky'okubaamu ekitundu ekitukuvu n'ekibanja ky'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekifo kyonna awamu kiriba kyenkana obuwanvu n’obugazi ze mayilo munaana buli luuyi. Ekyo kye kiriba ekirabo eky’enjawulo eky’omugabo omutukuvu, awamu n’ettaka ly’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitone kyonna kiriba obugazi emitwalo ebiri enkumi ttaano (25,000) n'obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), muliwaayo ekitone ekitukuvu nga kyenkanankana enjuyi zonna, wamu n'obutaka obw'ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo ekitundu kyonna kye mulyawulako, kiriba kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu ku njuyi zonna, nga kizingiramu ekitundu ekyawongebwa, n'ekitundu eky'okuzimbamu ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitone kyonna kiriba obugazi obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano: muliwaayo ekitone ekitukuvu nga kyenkanankana enjuyi zonna, wamu n'obutaka obw'ekibuga.