Ezekiel 48:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekiriba kifisseewo ku njuyi zombi olw'ekitundu ekitukuvu n'olw'ekibanja ky'ekibuga, kiriba kya mulangira. Kirigenda ebuvanjuba ku mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano egy'ekitundu ekitukuvu ne kikwata ku nsalo ez'ebuvanjuba; ate ne kigenda ebugwanjuba okuva ku mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano okutuuka ku nsalo ey'ebugwanjuba. Ebitundu bino byombi birigenda bisalagana n'ebitundu by'ebika; biriba bya mulangira; ate byo, ekitundu ekitukuvu n'Ekiggwa, biriba mu kyo wakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekitundu ekirifikkawo ku njuyi zombi ez’omugabo omutukuvu n’ettaka ly’ekibuga biriba bya mulangira. Okugenda mu Buvanjuba ekimu kiriba mayilo munaana ez’omugabo omutukuvu okutuuka ku nsalo ey’Ebuvanjuba, n’ekirala okudda mu Bugwanjuba kiriba mayilo munaana okutuuka ku nsalo ey’Ebugwanjuba. Ebifo ebyo byombi okuliraana emigabo egy’ebika biriba bya mulangira. Omugabo omutukuvu, awamu n’Awatukuvu wa yeekaalu, biriba wakati wakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekitundu ekifisseewo kiriba kya mulangira, okuliraana ekitone ekitukuvu eruuyi n'eruuyi n'obutaka obw'ekibuga, mu maaso emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) obw'ekitone, okwolekera ensalo ey'ebuvanjuba, n'ebugwanjuba mu maaso emitwalo ebiri mu enkumi ettaano (25,000) okwolekera ensalo ey'ebuvanjuba, okwenkana emigabo, kye kiriba eky'omulangira n'ekitone ekitukuvu n'awatukuvu awa Yeekaalu wakati omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ekisigaddewo ku njuyi zombi, ebuvanjuba n'ebugwanjuba w'ebitundu bino: eky'Essinzizo, n'eky'ettaka lya bakabona, n'ery'Abaleevi, n'ery'ekibuga, ebikiri wakati, kiriba kya kabaka. Ekitundu ekyo ekya kabaka nga kigoberera ensalo ezikyawula ku migabo gy'Ebika, kirimalirayo ddala obuwanvu obwa kilomita ekkumi n'ebbiri n'ekitundu, obuva ku nsalo ey'ebuvanjuba okutuuka ku y'ebugwanjuba. Ekitundu ekyayawulibwa, era n'Ekifo Ekitukuvu kyennyini, biriba wakati wa mugabo gwa kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekitundu ekifisseewo kiriba kya mulangira, okuliraana ekitone ekitukuvu eruuyi n'eruuyi n'obutaka obw'ekibuga, mu maaso g'obukumi obubiri mu enkumi ttaano obw'ekitone, okwolekera ensalo ey'ebuvanjuba, n'ebugwanjuba mu maaso g'obukumi obubiri mu enkumi ettaano okwolekera ensalo ey'ebuvagwanjuba, okwenkana emigabo, kye kiriba eky'omulangira n'ekitone ekitukuvu n'awatukuvu aw'ennyumba biriba wakati omwo.