Ezekiel 48:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno obutaka bw'Abaleevi n'ettaka ly'ekibuga biriba mu makkati g'ekitundu ky'omulangira. Ekitundu ky'omulangira kiriba mu makkati g'ensalo ya Yuda n'eya Benyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu ky’Abaleevi n’ettaka ly’ekibuga biriba wakati mu kitundu ky’omulangira. Ekifo ky’omulangira kiriba wakati w’ensalo ya Yuda n’ensalo ya Benyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate okuva ku butaka obw'Abaleevi n'okuva ku butaka obw'ekibuga, obuli wakati w'ekitundu eky'omulangira, wakati w'ensalo ya Yuda n'ensalo ya Benyamini, waliba wa mulangira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ettaka ly'Abaleevi n'ery'ekibuga, biriba wakati wa mugabo gwa kabaka, nga gwo guli wakati w'omugabo gwa Yuda mu bukiikakkono, n'omugabo gwa Benyamiini mu bukiikaddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate okuva ku butaka obw'Abaleevi n'okuva ku bataka obw'ekibuga, obuli wakati w'ekitundu eky'omulangira, wakati w'ensalo ya Yuda n'ensalo ya Benyamini, waliba wa mulangira.