Ezekiel 48:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebika ebirala: Okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba kye kitundu kimu, ye Benyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“N’ebika ebirala birigabana bwe biti: “Okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Benyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebika ebirala birigabana bwe biti: okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Benyamini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebika ebirala birigabana bwe biti: Benyamiini aligabana ekitundu ekitandikira ku nsalo ey'omu buvanjuba, ne kikoma ku nsalo ey'omu bugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebika ebirala; okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Benyamini omugabo gumu.