Ezekiel 48:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okusalagana n'ekitundu kya Benyamiini, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba kye kitundu kimu, ye Simewoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okuliraana ensalo ya Benyamini okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Simyoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awali ensalo ya Benyamini okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Simyoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Simyoni aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Benyamiini, okuva ku ludda lw'ebuvanjuba okutuuka ku ludda lw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awali ensalo ya Benyamini okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwaajuba; Simvoni omugabo gumu.