Ezekiel 48:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okusalagana n'ekitundu kya Yissakari, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba kye kitundu kimu, ye Zebuluni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okuliraana ensalo ya Isakaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Zebbulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awali ensalo ya Isakaali okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Zebbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zebbulooni aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Yissakaari, okuva ku ludda lw'ebuvanjuba, okutuuka ku ludda lw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awali ensalo ya Isakaali okuva ku Lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Zebbulooni omugabo gumu.