Ezekiel 48:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okusalagana n'ekitundu kya Zebuluni, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba kye kitundu kimu, ye Gaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okuliraana ensalo ya Zebbulooni okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba, guliba mugabo gwa Gaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awali ensalo ya Zebbulooni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Gaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gaadi aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Zebbulooni, okuva ku ludda olw'ebuvanjuba, okutuuka ku ludda lw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awali ensalo ya Zebbulooni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi o1w'ebugwanjuba; Gaadi omugabo gumu.