Ezekiel 48:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okusalagana n'ekitundu kya Gaadi, ku luuyi olw'emaserengeta, ensalo zirigenda okuva e Tamari okutuuka ku mazzi ge Meriba-Kadesi n'okukoota Ekiwonvu Misiri okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okuliraana ensalo ya Gaadi ku luuyi olw’Obukiikaddyo, ensalo eriba kyenkanyi okuva ku Tamali n’etuuka ku mazzi ag’e Meribasukadeesi, n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene, ye Meditereniyaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awali ensalo ya Gaadi, ku lubiriizi olw'obukiikaddyo, mu busimba bwabwo, ensalo eriva ku Tamali n'etuuka ku mazzi ag'e Meribasukadeesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku ludda olw'omu bukiikaddyo obw'ekitundu ekirigabanibwa Gaadi, ensalo y'ensi ya Yisirayeli eriva ku Tamari, n'etuuka ku mazzi ag'e Meribati Kadesi, n'egenda n'akagga akali ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku Nnyanja Ennene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awali ensalo ya Gaadi, ku lubiriizi olw'obukiika obwa ddyo mu busimba bwabwo, ensalo eriva ku Tamali n'etuuka ku mazzi ag'e Meribasukadeesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene.