Ezekiel 48:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Eyo ye nsi gye munaagabira ebika bya Yisirayeli ng'obusika, era ebyo bye binaaba ebitundu byabwe,” Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obwo bwe butaka bw’oligabanya ng’omugabo mu bika bya Isirayiri, era egyo gye giriba emigabo gyabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo ye nsi gye muligabanira n'obululu ebika bya Isiraeri okuba obusika, era egyo gye migabo gyabwe kinnakimu, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo ye nsi gye muligabanyaamu nga mukuba kalulu, ne mu giwa Abayisirayeli mu Bika byabwe, ebe obutaka bwabwe, era egyo gye migabo gyabwe.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyo ye nsi gye muligabanira n'obululu ebika bya Isiraeri okuba obusika, era egyo gye migabo gyabwe kinnakimu, bw'ayogera Mukama Katonda.