Ezekiel 48:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emiryango gy'ekibuga girituumibwa amannya g'ebika bya Yisirayeli, kuliko emiryango esatu: omulyango gwa Rubeni, omulyango gwa Yuda n'omulyango gwa Leevi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
emiryango girituumibwa ng’ebika bya Isirayiri bwe biri. Era emiryango egy’oluuyi olwo giriba esatu, omulyango ogwa Lewubeeni, n’omulyango ogwa Yuda n’omulyango gwa Leevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'emiryango egy'ekibuga giriba ng'amannya g'ebika bya Isiraeri; emiryango esatu nga gitunuudde e bukiikakkono, omulyango gwa Lewubeeni gumu; omulyango gwa Yuda gumu n'omulyango gwa Leevi gumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
lulibaako emiryango esatu egirituumibwa amannya g'Ebika bya Yisirayeli. Omulyango gwa Rewubeeni, gumu; Omulyango gwa Yuda, gumu; n'Omulyango gwa Leevi, gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'emiryango egy'ekibuga giriba ng'amannya g'ebika bya Isiraeri; emiryango esatu egitunuulira obukiika obwa kkono: omulyango gwa Lewubeeni gumu; omulyango gwa Yuda gumu; omulyango gwa Leevi gumu: