Ezekiel 48:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku luuyi olw'ebuvanjuba, oluweza emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano obuwanvu, kuliko emiryango esatu: omulyango gwa Yozefu, omulyango gwa Benyamiini n'omulyango gwa Daani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Yusufu, n’omulyango ogwa Benyamini, n’omulyango ogwa Ddaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku lubiriizi olw'obuvanjuba emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500); n'emiryango esatu: omulyango gwa Yusufu gumu; omulyango gwa Benyamini gumu n'omulyango gwa Ddaani gumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'oludda olw'ebuvanjuba, oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano, lulibaako emiryango esatu: Omulyango gwa Yosefu, gumu; Omulyango gwa Benyamiini, gumu; n'Omulyango gwa Daani; gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne ku lubiriizi olw'ebuvanjuba emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano; n'emiryango esatu: omulyango gwa Yusufu gumu; omulyango gwa Benyamini gumu; omulyango gwa Ddaani gumu: