Ezekiel 48:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku luuyi olw'emaserengeta, oluweza emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano obuwanvu, kuliko emiryango esatu: omulyango gwa Simewoni, omulyango gwa Yissakari n'omulyango gwa Zebuluni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Simyoni, n’omulyango ogwa Isakaali, n’omulyango ogwa Zebbulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku lubiriizi olw'obukiikaddyo emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500) ezigerebwa; n'emiryango esatu: omulyango gwa Simyoni gumu; omulyango gwa Isakaali gumu n'omulyango gwa Zebbulooni gumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'oludda olw'omu bukiikaddyo oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano, lulibaako emiryango esatu: Omulyango gwa Simyoni, gumu; Omulyango gwa Yissakaari, gumu; n'Omulyango gwa Zebbulooni, gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne ku lubiriizi olw'obukiika obwa ddyo emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano ezigerebwa; n'emiryango esatu: omulyango gwa Simyoni gumu; omulyango gwa Isakaali gumu; omulyango gwa Zebbulooni gumu: