Ezekiel 48:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ku luuyi olw'ebugwanjuba oluweza emikono enkumi nnya mu ebikumi bitaano obuwanvu kuliko emiryango esatu: omulyango gwa Gaadi, omulyango gwa Aseeri n'omulyango gwa Nafutali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ku luuyi olw’Obugwanjuba obuli mayilo emu n’ekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Gaadi, n’omulyango ogwa Aseri, n’omulyango ogwa Nafutaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lubiriizi olw'obugwanjuba emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500), n'emiryango gyabwe esatu: omulyango gwa Gaadi gumu; omulyango gwa Aseri gumu n'omulyango gwa Nafutaali gumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oludda olw'ebugwanjuba, nalwo oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano, lulibaako emiryango esatu: Omulyango gwa Gaadi, gumu; Omulyango gwa Aseri, gumu; n'Omulyango gwa Nafutaali, gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku lubiriizi olw'obugwanjuba emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'emiryango gyabwe esatu: omulyango gwa Gaadi gumu; omulyango gwa Aseri gumu; omulyango gwa Nafutaali gumu.