Ezekiel 48:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwetooloovu bwonna buliba bwa mikono omutwalo gumu mu kanaana. “Erinnya ly'ekibuga okuva ku olwo liriba 'Omukama Ali Eyo'.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Okwetooloola ekibuga waliba mayilo mukaaga obuwanvu. “N’erinnya ly’ekibuga okuva mu kiseera ekyo liriba: ‘ Mukama Katonda ali omwo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiriba kya mmuli omutwalo gumu mu kanaana (18,000) okwetooloola, n'erinnya ery'ekibuga okuva ku lunaku olwo liriba nti, Mukama ali omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obuwanvu bwonna obw'ekisenge ekyetooloola Ekibuga, buliba mita kenda. Era Ekibuga ekyo okuva olwo kinaayitibwanga “Mukama ali omwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiriba kya mmuli kakumi mu kanaana okwetooloola: n'erinnya ery'ekibuga okuva ku lunaku olwo liriba nti Mukama ali omwo.