Ezekiel 48:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okusalagana n'ekitundu kya Nafutali, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba, kye kitundu kimu, ye Manasse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okuliraana Nafutaali okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba mugabo gwa Manase.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awali ensalo ya Nafutaali, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Manase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Manasse aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Nafutaali, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awali ensalo ya Nafutaali, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Manase omugabo gumu.