Ezekiel 48:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okusalagana n'ekitundu kya Yuda, okuva ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lw'ebugwanjuba, kye kitundu kye mulyawulako, nga kya mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu bugazi, ate mu buwanvu okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba nga kyenkana buli kimu ku bitundu by'ebika; Ekitukuvu kiriba mu kyo wakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Okuliraana Yuda okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba gwe guliba omugabo gwe muligaba ng’ekirabo eky’enjawulo. Obugazi guliba mayilo munaana, n’obuwanvu okuva ku luuyi olw’ebuvanjuba okutuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba guliba ekipimo kye kimu, ng’ogumu ku migabo gy’ebika. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era awali ensalo ya Yuda, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, we waliba ekitone kye muliwaayo, obugazi bwakyo emmuli emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) n'obuwanvu nga bwenkana ogumu ku migabo, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba: n'awatukuvu waliba mu kyo wakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuliraana n'ekitundu kya Yuda, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, we waliba ekitundu kye mulirekawo ekyenjawulo. Obugazi bwakyo buliba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu, okuva mu bukiikakkono okutuuka mu bukiikaddyo, n'obuwanvu bwakyo nga bwenkana obw'emigabo gy'Ebika, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Essinzizo liribeera mu kyo wakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era awali ensalo ya Yuda, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, we waliba ekitone kye muliwaayo, obugazi bwakyo emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obuwanvu nga bwenkana ogumu ku migabo, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba: n'awatukuvu waliba mu kyo wakati.