Ezekiel 48:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekitundu kye mulyawulirako Omukama kiriba kya mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu, ate obugazi omutwalo gumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omugabo ogw’enjawulo gwe muligabira Mukama guliba obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitone kye muliwaayo eri Mukama kiriba obuwanvu bwakyo emmuli emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'obugazi omutwalo gumu (10,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ekyo kye mulyawulira Mukama, kiriba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita kkumi obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitone kye muliwaayo eri Mukama kiriba obuwanvu bwakyo emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttaano, n'obugazi kakumi.