Ezekiel 5:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno, mwana w'omuntu, ddira ekitala ekyogi okikozese ng'akamwano ka kinyoozi omwe omutwe gwo n'ekirevu kyo. Ddira minzaani oyawuleyawule mu nviiri n'ebirevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano, omwana w’omuntu, ddira ekitala ekyogi, okikozese nga weembe ya kinyoozi okwemwa omutwe n’ekirevu. N’oluvannyuma oteeke enviiri ku minzaani ozipime era ozigabanyeemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'aŋŋamba nti, “ Omwana w'omuntu, ddira ekitala eky'obwogi, okikozese ng'akamwano ak'omumwi, okimwese enviiri zo n'ekirevu kyo n'oluvannyuma oteeke enviiri ku minzaani ozipime, era ozigabanyeemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, kwata ekitala ekyogi, okikozese ng'akamwano k'omumwi w'enviiri, okimwese enviiri zo n'ekirevu kyo. Olwo okwate minzaani, opime enviiri ezo, era ozigabanyeemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, ddira ekitala eky'obwogi, okyeddirire ng'akamwano ak'omumwi, okiyise ku mutwe gwo ne ku kirevu kyo: kale otwale eminzaani okupima, oyawule mu nviiri.