Ezekiel 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mu ggwe bakitaabwe b'abaana balirya abaana baabwe, n'abaana balirya bakitaabwe. Ndikubonereza, ne nsaasaanya mu mpewo bonna ababo abaliba basigaddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakitaabwe baliriira abaana baabwe mu maaso gammwe, ate n’abaana balirya bakitaabwe, era ndikubonereza ne nsasaanya abalisigalawo eri empewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakitaabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu ggwe, n'abaana balirya bakitaabwe: era ndituukiririza emisango mu ggwe, n'ekitundu kyo kyonna ekifisseewo ndikisaasaanyiza eri empewo zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abazadde, baliriira abaana baabwe mu Yerusaalemu, n'abaana balirya bazadde baabwe. Bwe ntyo bwe ndibabonereza mmwe, era abaliba basigaddewo nga balamu ndibasaasaanyiza buli ludda embuyaga gye zikuntira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakitaabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu ggwe, n'abaana balirya bakitaabwe: era ndituukiririza emisango mu ggwe, n'ekitundu kyo kyonna ekifisseewo ndikisaasaanyiza eri empewo zonna.