Ezekiel 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno, mazima nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, kubanga ojaajaamizza ekitukuvu kyange olw'ebibi byo byonna ne bye wakola ebyenyinyalwa, nange nzija kubavaamu; eriiso eryange terijja kusonyiwa; sijja kusaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo nga bwe ndi omulamu, olw’okuyonoonesa awatukuvu wange ne bakatonda abalala ab’ekivve, n’ebikolwa byammwe eby’ekivve, nze kennyini kyendiva nnema okukulaga ekisa, era sirikulaga kisa wadde okukusaasira, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga wayonoona awatukuvu wange n'ebibyo byonna eby'ebivve n'ebibyo byonna eby'emizizo, nange kyendiva nkukendeeza; so n'amaaso gange tegalisonyiwa so nange sirikwatibwa kisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale Nze Mukama Katonda, ndayira nti nga bwe ndi omulamu, bino bye ŋŋamba nti ggwe Yerusaalemu, nga bwe wayonoona Ekifo kyange Ekitukuvu ng'okikoleramu ebibi byonna n'ebyenyinyalwa byonna, kyendiva nsanjaga abantu abakulimu, awatali kusaasira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)