Ezekiel 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ggwe, ekitundu ekyokusatu kirifa kawumpuli oba balizikirira enjala wakati mu ggwe, ekyokusatu ekyokubiri kirifa ekitala ku njuyi zonna, ate ekyokusatu ekyokusatu nkisaasaanye mu mpewo wonna; ndibawondera n'ekitala ekisowole.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kimu kya kusatu ku bantu bo balifa kawumpuli oba bazikirire olw’ekyeya nga bali mu ggwe. Kimu kya kusatu ekirala kirittibwa ekitala ebweru wa bbugwe, ne kimu kya kusatu ekirala ndikisaasaanya eri empewo ne mbagoba n’ekitala ekisowole.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitundu kyo eky'okusatu kirifa kawumpuli, era balimalibwawo n'enjala wakati mu ggwe; n'ekitundu eky'okusatu kirigwa n'ekitala okukwetooloola; n'ekitundu eky'okusatu ndikisaasaanyiza eri empewo zonna, n'ensowola ekitala ekiribagoberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekimu ekyokusatu eky'abantu bo balifa endwadde, era balimalibwawo enjala mu ggwe. N'ekitundu ekimu ekyokusatu kirittibwa mu lutalo okukwetooloola. N'ekitundu ekimu ekyokusatu ndikisaasaanyiza wonna embuyaga w'ekuntira, ne nsowola ekitala ekiribalondoola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)