Ezekiel 5:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo obusungu bwange bulikoma n'obuswandi bwange ku bo buliweerako, ne nkubagizibwa; bwe ndimala okubamalirako obusungu bwange, balimanya nga nze Omukama nze njogedde nga zigya mu bbuba lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Olwo nno obusungu bwange n’ekiruyi kyange birikkakkana, era ndiba nesasuzza. Era bwe ndibasunguwalira balimanya nga nze Mukama nkyogeredde mu buggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwange bwe bulituukirira bwe butyo, era ndikkusa ekiruyi kyange ku bo, kale ndisanyusibwa: kale balimanya nga nze Mukama njogedde olw'obunyiikivu bwange, bwe ndimala okutuukiririza ku bo ekiruyi kyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Obusungu bwange bwe butyo bwe bulituukirira ku bo, ne ndyoka mmatira nga mbamaliddeko ekiruyi kyange. Bwe ndimala okubamalirako ekiruyi kyange, olwo mulimanya nga Nze Mukama, nze njogedde nammwe, kubanga munnyiizizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)