Ezekiel 5:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibasindikira enjala n'ebisolo eby'ettale, nzija kubamalako abaana. Kawumpuli n'okuyiwa omusaayi birikuyitamu, ndikwolekeza n'ekitala, nze Omukama nze njogedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibaleetera ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne zibaleka nga temulina baana. Kawumpuli n’okuyiwa omusaayi biribatuukako, ne mbaleetako ekitala. Nze Mukama nkyogedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndibaweerezaako enjala n'ensolo embi, era zirikufiiriza; era kawumpuli n'omusaayi biriyita mu ggwe; era ndikuleetako ekitala: nze Mukama nkyogedde.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisindika enjala n'ensolo enkambwe, ne bitta abantu bo. Era endwadde, n'obutemu, n'entalo, birijja mu ggwe. Nze Mukama njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndibaweerezaako enjala n'ensolo embi, era zirikufiiriza; era kawumpuli n'omusaayi biriyita mu ggwe; era ndikuleetako ekitala: nze Mukama nkyogedde.