Ezekiel 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye yajeemera ebiragiro byange n'asinga n'amawanga mu bugwenyufu, n'amateeka gange okukira ensi zonna ezimwetoolodde; yasambajja ebiragiro byange, teyagoberera mateeka gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye, boonoonye okusinga amawanga n’ensi abemwetoolodde bwe boonoonye ne bajeemera amateeka n’ebiragiro byange. Ajeemedde amateeka gange, n’atagoberera biragiro byange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kijeemedde ebiragiro byange n'amateeka gange, n'ekikola ebibi okusinga ensi ezikyetoolodde. Ab'omu Yerusaalemi bajeemedde ebiragiro byange, era bagaanye okukwata amateeka gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kijeemedde ebiragiro byange n'amateeka gange, ne kikola ebibi n'ensi ezikyetoolodde. Ab'omu Yerusaalemu bajeemedde ebiragiro byange, era bagaanye okukwata amateeka gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kyajeemera emisango gyange nga kikola obubi okusinga amawanga, era kijeemedde amateeka gange okusinga ensi ezikyetoolodde: kubanga bagaanyi emisango gyange, n'amateeka gange tebagatambuliddemu.