Ezekiel 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga mwevvujjuula n'okukira amawanga agabeetoolodde, ne mutatambulira mu biragiro byange, ne mutafa ku mateeka gange, ne muteefaananya nako ku mpisa z'amawanga agabeetoolodde,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mubadde bajeemu nnyo n’okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mukoze ebibi okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mwonoonye okukira amawanga agabeetoolodde bwe gakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, ‘Kubanga muli ba mawaggali okukira amawanga agabeetoolodde, so temutambulidde mu mateeka gange, so temukutte misango gyange, so temukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo Nze Mukama Katonda ŋŋamba nti nga bwe muli ab'amawaggali okusinga ab'amawanga agabeetoolodde, ne mujeemera ebiragiro byange, ne mutakwata mateeka gange, oba waakiri okukwata amateeka ag'amawanga agabeetoolodde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga muli ba mawaggali okukira amawanga agabeetoolodde, so temutambulidde mu mateeka gange, so temukutte misango gyange, so temukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde;