Ezekiel 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'olw'ekyo Omukama Katonda kino ky'agamba: Nange kennyini nkuli bukiika, nze nzennyini nzija kukuwa ekibonerezo mu maaso g'amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndi mulabe wo, Yerusaalemi, era ndikubonerereza mu maaso g’amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, ‘Laba, nze, nze mwene, ndi mulabe wo; era ndituukiriza emisango wakati mu ggwe amawanga nga galaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale kaakano nze nzennyini ndi mulabe wammwe, era ndisala omusango okubasinga mmwe, ng'amawanga gonna galaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndi mulabe wo; era ndituukiriza emisango wakati mu ggwe amawanga nga galaba.