Ezekiel 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balimanya nti nze Mukama, nga saayogerera bwereere nti ndibakola ekibi ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era balimanya nga nze Mukama; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balimanya nga nze Mukama: saayogerera bwereere nga ndibakola obubi buno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balimanya nga Nze Mukama, era nga saatiisatiisa butiisatiisa bwe nagamba okubatusaako akabi ako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balimanya nga nze Mukama: saayogerera bwereere nga ndibakola obubi buno.