Ezekiel 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Mukube mu ngalo, musambagale, mugambe nti: “Kitalo!” olw'ebibi ebyenyinyalwa eby'ennyumba ya Yisirayeli, kubanga bajja kusaanyizibwawo ekitala, enjala ne kawumpuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kuba mu ngalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti, “Woowe”; olw’ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu n’ebintu byonna eby’ekkive eby’ennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa n’ekitala, abalala balifa enjala, n’abalala balifa kawumpuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Kuba n'omukono gwo, era samba n'ekigere kyo, oyogere nti Woowe! olw'emizizo gyonna emibi egy'ennyumba ya Isiraeri: kubanga baligwa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda agamba nti: “Kunya engalo zo, era osambesambe wansi ku ttaka, okungubage olw'ebibi byonna, n'olw'ebyenyinyalwa Abayisirayeli bye baakola, bajja kufiira mu lutalo, battibwe enjala n'endwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kuba n'omukono gwo, era samba n'ekigere kyo, oyogere nti Woowe! olw'emizizo gyonna emibi egy'ennyumba ya Isiraeri: kubanga baligwa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.