Ezekiel 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ali ewala alifa kawumpuli, ate ali okumpi alifa ekitala; aliba asigaddewo, oyo aliba ataliziddwa, alifa enjala; obusungu bwange ndibumumalirako bwe ntyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ali ewala alifa kawumpuli, n’oyo ali okumpi aligwa n’ekitala, n’oyo alisigalawo alifa enjala. Bwe ntyo bwe ndiraga obusungu bwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ali ewala alifa kawumpuli; n'oyo ali okumpi aligwa n'ekitala; n'oyo alisigalawo n'azingizibwa alifa enjala: bwe ntyo bwe ndituukiririza ekiruyi kyange ku bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abali ewala, bajja kulwala bafe; abali okumpi, bajja kuttirwa mu lutalo; n'abo abaliwonawo ne bazingizibwa, balifa enjala. Bwe ntyo bwe ndimalira ekiruyi kyange ku bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ali ewala alifa kawumpuli; n'oyo ali okumpi aligwa n’ekitala; n'oyo asigalawo n’azingizibwa alifa enjala: bwe ntyo bwe ndituukiririza ekiruyi kyange ku bo.