Ezekiel 6:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulimanya nti nze Mukama, abantu baabwe abattiddwa bwe baliba bagudde awo mu bifaananyi byabwe ebya balubaale n'okwetooloola emyaliiro gyabwe ku buli kasozi ne ku buli ntikko za nsozi, na buli wansi w'omuti oguggumizza, ne wansi wa buli muvule oguggumizza, gye baaweererezanga obubaani obuwunya obulungi ebifaananyi byabwe byonna ebya balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe mulimanya nga nze ndi Mukama, abasajja baabwe abattiddwa bwe baliba mu bifaananyi byabwe okwetooloola ebyoto byabwe, ku buli lusozi oluwanvu, ku ntikko zonna ez'ensozi ne wansi wa buli muti omubisi ne wansi wa buli mwera omuziyivu, ekifo mwe baaweerangayo evvumbe eddungi eri ebifaananyi byabwe byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirambo gy'abattiddwa bwe giriba nga gigaŋŋalamye wakati mu bifaananyi bye basinza, okwetooloola alutaari zaabwe, ku buli kasozi akawanvu, ne ku ntikko zonna ez'ensozi, ne wansi wa buli muti ogw'amakoola, ne wansi wa buli muvule omuziyivu, mu buli kifo mwe baaweerangayo ebitambiro ebyokebwa eri ebifaananyi bye basinza, olwo lwe mulimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe mulimanya nga nze ndi Mukama, abasajja baabwe abattiddwa bwe baliba mu bifaananyi byabwe okwetooloola ebyoto byabwe, ku buli lusozi oluwanvu, ku ntikko zonna ez'ensozi ne wansi wa buli muti ogwera ne wansi wa buli mwera omuziyivu, ekifo mwe baweerangayo evvumbe eddungi eri ebifaananyi byabwe byonna.