Ezekiel 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubagololerako omukono gwange ensi ngifuule matongo, omutali kantu, okuva ku ddungu lye Dibula na yonna gye babeera. Olwo balimanya nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndigolola omukono gwange ku bo, ensi ne yonooneka ne tebalamu kintu okuva ku ddungu okutuuka e Dibula, ne buli gye babeera. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ndibagololerako omukono gwange ne ndekessaawo ensi ne ngizisa, okuva ku ddungu e Dibula, okubuna ennyumba zaabwe zonna: kale balimanya nga nze ndi Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndigolola omukono gwange okubalwanyisa, ne nfaafaaganya ensi yaabwe gye babeeramu, n'ezika n'eba matongo, okuva ku ddungu okutuuka e Ribula. Olwo lwe balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ndibagololerako omukono gwange ne ndekesawo ensi ne ngizisa, okuva ku ddungu e Dibula, okubuna ennyumba zaabwe zonna: kale balimanya nga nze ndi Mukama.