Ezekiel 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zigambe nti: ‘Nsozi za Yisirayeli, muwulire ekigambo ky'Omukama Katonda. Omukama Katonda kino ky'agamba ensozi n'obusozi, enkonko n'ebiwonvu: Nzija kubaleetera ekitala, era nzija kuzikiriza ebifo byammwe ebigulumivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oyogere nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensozi n’obusozi, eri emigga n’ebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza n’ebifo byammwe ebigulumivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, emigga n'ebiwonvu, nti Laba, nze, nze mwene, ndibaleetako ekitala, era ndizikiriza ebifo byammwe ebigulumivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ozigambe nti: ‘Mmwe ensozi za Yisirayeli, muwulire Mukama Katonda ky'agamba. Mukama Katonda agamba ensozi n'obusozi, emigga n'ebiwonvu nti mulabe, nze nzennyini ndireeta olutalo ku mmwe, ne nsaanyaawo ebifo byammwe ebigulumivu, abantu mwe basinziza balubaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe ensozi za Isiraeri muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, emigga n'ebiwonvu, nti Laba, nze, nze mwene, ndibaleetako ekitala, eri ndizikiriza ebifo byammwe ebigulumivu.