Ezekiel 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kusaanyaawo emyaliiro, nzija kumenyawo n'emyaliiro kwe munyookereza obubaani. Abantu bammwe abattiddwa ndibasuula awo mu maaso g'ebifaananyi byammwe ebya balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyoto byammwe birimenyebwamenyebwa, n’ebyoto kwe mwotereza obubaane birimenyebwamenyebwa; ndittira abantu bo mu maaso ga bakatonda bo abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebyoto byammwe birirekebwawo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba birimenyebwa, era abantu bammwe abattibwa ndibasuula mu maaso g'ebifaananyi byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alutaari za balubaale bammwe zirirekebwa ttayo, ebifo mwe banyookereza obubaane birimenyebwa. Abantu bammwe abalittibwa ndibasuula mu maaso g'ebifaananyi bye basinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebyoto byammwe birirekebwawo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba birimenyeka: eri ndisuula abasajja bammwe abattibwa mu maaso g'ebifaananyi byammwe.