Ezekiel 6:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emirambo gy'Abayisirayeli ndigisuula awo mu maaso g'ebifaananyi byammwe ebya balubaale, n'amagumba gammwe ndigasaasaanya okwetooloola emyaliiro gyammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiddira emirambo gy’Abayisirayiri ne ngiteeka mu maaso ga bakatonda baabwe abalala, era ndisaasaanya amagumba go okwetooloola ebyoto byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndigalamiza emirambo gy'abaana ba Isiraeri mu maaso g'ebifaananyi byabwe, era ndisaasaanya amagumba gammwe okwetooloola ebyoto byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndituuma emirambo gy'Abayisirayeli mu maaso g'ebifaananyi bye basinza, era ndisaasaanya amagumba gaabwe okwetooloola alutaari zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndigalamiza emirambo gy'abaana ba Isiraeri mu maaso g'ebifaananyi byabwe, era ndisaasaanya amagumba gammwe okwetooloola ebyoto byammwe.