Ezekiel 6:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakaawonawo bwe baliba eyo mu mawanga gye baatwalibwa nga basibe, balinzijukira ng'omutima gwange bwe gwannennyika olw'emitima gyabwe emyenzi egyanvaako, n'olw'amaaso gaabwe amenzi agakwatirwa ebifaananyi byabwe ebya balubaale amaddu. Balyekyawa bennyini olw'ebibi byabwe bye baakola n'ebikolwa byabwe ebyenyinyalwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era eyo mu mawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olw’emitima gyabwe eginjeemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala. Balikyama olw’obutali butuukirivu bwabwe, n’olwebikolwa byabwe byonna ebigwenyufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale abo abaliwona ku mmwe balinjijukira nga bayima mu mawanga gye balitwalibwa nga basibe, bwe nnamenyeka olw'omutima gwabwe omwenzi, oguvudde ku nze, n'olw'amaaso gaabwe agagenda nga gayenda okugoberera ebifaananyi byabwe: kale balyetamwa mu maaso gaabwe bo olw'obubi bwe bakola mu mizizo gyabwe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
gye balitwalibwa nga basibe. Kale abo abaliba bawonyeewo, balinzijukira nga bali eyo mu mawanga, ne bamanya bwe namenya emitima gyabwe egitali myesigwa egyanvaako, n'amaaso gaabwe ge baalalambaza nga bagazza ku bitali Nze Katonda, ne babisinza. Kale balyetamwa bo bennyini olw'ebibi byabwe, n'olw'ebyenyinyalwa bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale abo abaliwona ku mmwe balinjijukira nga bayima mu mawanga gye balitwalibwa mu basibe, bwe nnamenyeka olw’omutima gwabwe omwenzi, oguvudde ku nze, n'olw'amaaso gaabwe agagenda nga gayenda okugoberera ebifaananyi byabwe: kale balyetamwa mu maaso gaabwe bo olw’obubi bwe bakola mu mizizo gyabwe gyonna.