Ezekiel 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obukambwe bukuze ne bufuuka omuggo ogw'okubonereza obugwenyufu; tewali mu bo anaasigalawo, mpaawo n'omu mu bbiina lyabwe, yadde akantu okuva mu bugagga bwamu, yadde eky'omuwendo kyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bweyongedde ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu; tewaliba n’omu alisigalawo; tewaliba n’omu ku kibiina newaakubadde ku byobugagga byabwe, newaakubadde eky’omuwendo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa eby'obukambwe bifuuse muggo okwongera okukola obubi. Tewaliba ku bo alisigalawo, newakubadde olufulube lwabwe, wadde eby'obugagga bwabwe era tewaliba mukulu mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukola eby'obukambwe kweyongedde, ne kuviiramu abantu okukola akabi ku balala. Ku byabwe tewaliba kisigalawo, ka bube bungi bwabwe, ka bube bugagga bwabwe, era ku bo tewaliba mulungi wadde waakitiibwa asigalawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyejo kigolokose okuba omuggo ogw'obubi; tewaliba ku bo abalisigalawo, newakubadde olufulube lwabwe newakubadde obugagga bwabwe: so tewaliba bukulu mu bo.