Ezekiel 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Obudde butuuse, olunaku lusembedde: omuguzi tasanyuka, n'omutunzi tanakuwala, kubanga obusungu buli ku kibiina kyonna;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiseera kituuse, n’olunaku lutuuse. Agula aleme okusanyukirira, n’oyo atunda aleme okunakuwala, kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde kumpi: agula aleme okusanyuka, so n'atunda aleme okunakuwala: kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde, agula aleme kusanyuka, wadde atunda okunakuwala, kubanga Mukama asunguwalidde bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde kumpi: agula aleme okusanyuka, so n'atunda aleme okunakuwala: kubanga obusungu buli ku lufulube lwabwe lwonna.