Ezekiel 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga atunda talinunula ky'atunze bwe baliba bakyali balamu, anti okulabikirwa kuli ku kibiina kyonna, tekujja kusazibwamu. Olw'okubeera ebibi byabwe, tewali aliwonya bulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Atunda taliddizibwa kintu kye yatunda, bombi bwe banaaba nga bakyali balamu. Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna so tekukyajulukuka. Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omu aliwonya obulamu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutunzi taliddizibwa ekyo kye yatunda, ne bwe baliba nga bakyali balamu: kubanga obusungu bwa Mukama buli ku kibiina kyonna, era olw'obutali butuukirivu tewaliba n'omu aliwonya bulamu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusuubuzi talisobola kuddamu kufuna by'afiiriddwa ne bw'aliwangaala, kubanga obusungu bwa Mukama butwaliramu bonna, era tewali alinyweza bulamu bwe nga yeesigamye ku kukola bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga atunda talidda eri ekyo ekitundibwa, newakubadde nga bakyali balamu: kubanga okwolesebwa kwa lufulube lwabwe lwonna, tewaliba alidda; so tewaliba alyenyweza mu butali butuukirivu obw'obulamu bwe.